ABATUUZE n'abakulembeze mu bizinga eby’enjawulo mu ggombolola y’e Jaguzi mu Mayuge basabye Gavumenti okubazimbira amasomero ga siniya n'amatendekero g’ebyemikono kisobozese abaana baabwe okufuna obukugu.
Bagamba nti bakooye abaana baabwe okufumbirwa nga bato n’okubafunyisa embuto ate abalenzi okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka nga okunywa omwenge, enjaga, amayirungi n’ebitamiiza ebirala.
Bano nga bakulembeddwaamu Boniface Okulo, ssentebe w’omwalo gw’e Masamba mu muluka gw’e Sirinyab mu ggombolola y’e Jaguzi okwogera bino yabadde ku mukolo ng’abakulembeze mu disitulikiti eno abaakulembeddwaamu ssentebe David Ziija batongoza okuzimba ekizimbe ky’ebibiina 2 ku ssomero lya Sirinyab P/S e Mayuge.
Okulo agamba nti basoomoozebwa olw’enteekateeka za Gavumenti kuba ku bizinga kwe babeera balina amasomero ga pulayimale mangi wabula balina ekizibu ng’abaana bamaze pulamale nga tebasobola kugenda mu siniya. Wano we basinzidde okukubira Gavumenti omulanga ebazimbira amasomero ga siniya buli ku kizinga.
Yayongeddeko nti abaana okugenda okusomera ku masomero ga siniya ag’oku lukalu tebasobola kukomawo buli lunaku olw’ebyenfuna by’abavubi ebiri obubi sso nga basobola n’okufunirayo ebizibu okuli abawala okukemebwa n’obuntu obutonotono ate abalenzi nabo ne beenyigira mu mize egibaggya ku mulamwa.
Felisita Mukodha omukulu w’essomero lye Sirinyab P/S agamba nti abaana olumala okusoma P7 nga bafumbirwa ku myaka emito ate abalenzi nga bagenda mu buvubi n’okunywa omwenge lwa kubulwa masomero ga siniya oba amatendekero ge basobola okufuniramu obukugu.
Ziija, agamba nti babadde n’okusoomoozebwa olw’ebizimbe ku masomero nga ku Sirinyab babadde n’ebibiina bina ng’ate balina okuva ku kibiina ekisooka okutuuka ku P7. Wabula yabagumizza kuba buvunaanyizibwa bwabwe okulaba nga buli kimu bakissa mu nkola.