Ebifaananyi

Ebikuyamba okukuuma endabirwamu z’emmotoka

ENDABIRWAMU z’emmotoka naddala ez’omu maasa zitera okufuna obuzibu bw’okubaluka ne zaatika oba okujjamu enjatika.

Endabirwamu y’emmotoka ng’eyatise.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ENDABIRWAMU z’emmotoka naddala ez’omu maasa zitera okufuna obuzibu bw’okubaluka ne zaatika oba okujjamu enjatika.
Jacob Twase, omukugu mu by’endabirwamu z’ebidduka agamba nti, obuzibu buno butera kuva ku nkyukakyuka y’embeera y’obudde ey’amangu.

Embeera evaako kino muzingiramu mmotoka okubeera mu kasana akangi ate amangu ddala endabirwamu ne zigwaako obunnyogovu bw’amazzi kino ne kiziviirako okwesika okw’amangu ne zibaluka oba okujjamu enjatika nga kiva ku ndabirwamu okwewaga oba okwemiima.
Ezimu ku njatika mu ndabirwamu eziba zitandiikiriza zisobola okutangirwa obuteeyongerayo nga bayita mu kuwummula mu maaso gaazo mu nkola emanyiddwa nga “stopper”.
Bwe kiba kisoboka mmotoka yandibadde esimbibwa mu kisiikirize mu budde bw’akasana.

Tags: