Mwesigwa awera kweddiza za 'Mr. Kampala'
May 27, 2022
Mwesigwa eyawangula empaka za Mr. Kampala eza 2021 mu kiseera kino ali mu kutendekebwa kwa kaasa mmeeme ku ‘ST Gym’ gye yeeweredde bw’agenda okuddamu okuwangula empaka zino omwaka guno.

NewVision Reporter
@NewVision
DANIEL Mwesigwa kyampiyoni w’empaka z’okuzimbya emifumbi eza ‘Mr. Kampala’ awera kuddamu banne nvuunula bibya yeddize empaka z’omwaka guno ezibindabinda.
Mwesigwa eyawangula empaka za Mr. Kampala eza 2021 mu kiseera kino ali mu kutendekebwa kwa kaasa mmeeme ku ‘ST Gym’ esangibwa mu Kisenyi ng'eno gye yeeweredde bw’agenda okuddamu okuwangula empaka zino omwaka guno.
Mwesigwa
Empaka za Mr. Kampala ez’omwaka guno zaakubaawo ku nkomerero y’omwezi ogujja nga June 27.
Kent Arereng omwogezi w’ekibiina kya 'Uganda Body Building and Fitness Association' agambye nti ku mulundi guno abawagizi basuubire ebipya bingi kuba bazongedde ebirungo.
No Comment