BANNABYAMIZANNYO ab’enjawulo basitukidde mu ngule z’omuzannyi anywedde mu banne akendo. Engule zino, eza 'Fortebet Real Star Monthly Awards', ziweebwa abazannyi ababa basukkulumye ku balala mu mizannyo egy’enjawulo mu mwezi.
Mu mwezi gwa May, Fazilah Ikwaput (ssita wa Crested Cranes, ttiimu y'eggwanga ey'omupiira ey'abakazi), omubaasi Stellah Oyella owa kiraabu ya NIC ne ttiimu y’eggwanga (She Cranes), omuddusi Victor Cherotich, Janet Mbabazi (cricket) ne Ronald Okello (basketball), be baasinze. Engule zaabwe zibakwasiddwa ku mukolo ogubadde ku Route 256 e Lugogo ku Lwokubiri (June 7, 2022).
Ikwaput amezze ssita wa Vipers ne Cranes, Bobosi Byaruhanga olw’okuteebera kiraabu ye eya Lady Doves ggoolo 10 mu mupiira 4, n’agiyamba okusigala mu liigi y’abakazi enkulu eya FUFA Women Super League. Omugatte, Ikwaput yateebye ggoolo za liigi 15 n’asitukira mu ngatto y’omuteebi.
Oyella yayambye NIC okwedizza ekikopo kya 'East Africa Club Netball Championship', bwe baawangudde KCCA ggoolo 44-35 ku fayinolo, ng'atebyeeko 37.
Cherotich yawangulidde Uganda emidaali ebiri okuli ogwa feeza mu mmita 3000, n'ogwekikomo mu 1500, mu misinde gy'amasomero ga siniya egy'ensi yonna egyabadde e Bufalansa.
Okello, owa kiraabu ya City Oilers, yasinze mu basketball olw'omutindo omusuffu gwe yayolesezza, ate Mbabazi, azannyira Victoria Pearls (ttiimu y'eggwanga eya Cricket eyabakazi) yasiimiddwa olw’okugiyamba okuwangula empaka za’ Nepal T20’.