BANNYAMIZANNYO ab’enjawulo bajaganya lwa kuwangula ngule za ‘Fortebet Real Star Monthly Awards’ ez’omwezi oguwedde.
Bano bakulembeddwa Bruno Bunyanga, omuteebi wa yunivasite ya St. Lawrence (SLAU) ezannyira mu Pepsi University League n’essaza lya Buddu. Omuddusi Jacob Kiplimo, Brenda Ekon owa basketball ne Riazat Ali Shah owa cricket.
Zimbe (ku ddyo) ng'akwasa Ekon engule.
Engule zibakwasiddwa ku Route 256 Bar e Lugogo. Isaac Mukasa, omutegesi ye yakiikiridde Kiplimo atali mu ggwanga ne Riazat ali mu nkambi ya Cricket Cranes, ttiimu y’eggwanga eya cricket eyeetegekera empaka ez’enjawulo.
Bunyanga yatuusizza Buddu FC ku semi z’empaka z’amasaza sso ng’era yatuusizza yunivasite yaabwe ku semi za Pepsi University Football League.
Muganga (ku ddyo) ng'akwasa Bunyaga engule.
Kiplimo, yawangudde emisinde gya Great Run Marathon egyabadde e Bungereza, Ekon yatuusizza JKL Lady Dolphins ku fayinolo ya liigi y’eggwanga ey’abakazi eya basketball ate Riazat yalondeddwa ng’omuzannyi eyasinze banne omutindo mu mpaka za Africa eza T-20 Uganda.
Lawrence Muganga, amyuka akulira Victoria University era abadde omugenyi omukulu, asiimye abategesi b’engule zino olw’ettoffaali lye bagasse mu kuzimba emizannyo mu ggwanga.
Omukolo gwetabiddwaako Alex Muhangi ambasada wa Fortebet eteeka ssente mu ngule zino kwossa Henry Zimbe owa Jude Colour Solutions nayo avujjirira engule zino.