Lwakataka asitukidde mu ngule ya ForteBet

PONSIANO ‘Mafu Mafu’ Lwakataka kyampiyoni wa NRC owa mmotoka z’empaka 2005 ne 2007 awangudde engule ya ‘Fortebet Real Star Monthly Awards’ n’ayongera okulaalika banne bw’akyabaliisa enfuufu.

Lwakataka asitukidde mu ngule ya ForteBet
By Fred Kisekka
Journalists @New Vision
#Ebyemizannyo #Lwakataka Ponsiano

Omukolo kwe baalondedde Lwakataka gubadde ku Route 256 e Lugogo nga mukyala we Rose Lwakataka, Paul Musaazi amusomera mmaapu ne Enock Mayanja akulira abawagizi be be bamukiikiridde.

Alex Muhangi ambasada wa Fortebet (ku ddyo), Rose Lwakata, Enock Mayanja akulira abawagizi ba Lwakataka ne Paul Musaasizi asomera Lwakata mmaapu (ku kkono) nga bakwasibwa engule yaabwe.

Alex Muhangi ambasada wa Fortebet (ku ddyo), Rose Lwakata, Enock Mayanja akulira abawagizi ba Lwakataka ne Paul Musaasizi asomera Lwakata mmaapu (ku kkono) nga bakwasibwa engule yaabwe.

Lwakata okuwangula engule eno kiddiridde omutindo gwe yataddewo omwezi oguwedde mwe yawangulidde empaka za ‘Rukaari-Lake Mburo Mbarara rally’ ezaggudewo kalenda y’omwaka eya mmotooka z’empaka.

Abalala abaawangudde ye Moses Aliro omuwuwuttanyi wa Wakiso Giants asinze mu b’omupiira ne Innocent Gwokto asinze mu ba Rugby ng’ono muzannyi wa kkiraabu ya Heathens ekulembedde liigi y’eggwanga eya ‘Nile Special Rugby League’.

Innocent Gwokto eyasinze mu Rugby.

Innocent Gwokto eyasinze mu Rugby.