Omukolo guno gubadde ku ‘Route 256’ e Lugogo bannabyamizannyo ab’enjawulo gye bakwasiddwa engule zaabwe.
Kiplimo amezze banne Victor Kiplangat ne Immaculate Chemutai mu misinde olwa likodi y’ensi yonna gye yataddewo mu misinde gya kiro mita 21 ‘Half Marathon’ egya ‘Lisbon Half Marathon’ egyabadde e Portugal.
Elizabeth Rukundo atudde mu kagaali, Depus Jjemba mukulu wa Fauzia Najjemba ku ddyo, Isaac Mukasa eyakikiridde Kiplimo, Ruth Meeme, Irene Nakalembe, Florence Mukoya ne Raziat Shah nga balaga engule zaabwe.
Yagiddukidde edakiika 57:31 namenya likodi ya MunnaKenya Kandie Kibiwott gye yateekawo omwaka oguwedde ku dakiika 57:32.
Najjemba ng’ono ssita wa Crested Cranes ttiimu y’eggwanga ey’omupiira gw’abakazzi ogw’ebigere awangudde olwa ggoolo 11 mu mpaka za CECAFA U-20.
Abalala abawangudde kuliko Irene Nakelembe (golf), Ruth Meeme (kubaka) ng’ono yayambye She Cranes ttiimu y’eggwanga ey’okubaka okusitukira mu mpaka za Pent Series n’okukwata eky’okubiri muza Afrika, Elizabeth Rukundo (para badminton) badminton w'abaliiko obulemu, Ali Raziat Shah (cricket) ne Florence Mukoya (woodball).
Paul Mark Kayongo pulezidenti w’ekibiina kya Woodball mu ggwanga ne mu Afrika asiimye abategesi olw’okutandiikawo empaka zino eziyambye okuzzaamu amaanyi bannabyamizannyo.