ManU ne Arsenal zikyalwanira omuzibizi wa Ajax
Jul 03, 2022
Martinez y'omu ku baayamba Ajax okuwangula liigi ya Budaaki wansi w'omutendesi Eric ten Hag kati ali mu ManU.

NewVision Reporter
@NewVision
OLUTALO lw’okukansa omuzibizi wa Ajax, Lisandro Martinez lukyagenda mu maaso nga Arsenal ne ManU buli emu emwegwanyiza. ManU yataddeyo obukadde bwa Euro 41 ng’egamba nti yaakwongerako obukadde buna okusinziira ku mutindo gw’anaaba ayolesezza, Ajax egamba nti zino ssente tezimala kuba yo eyagala obukadde bwa Euro 50. Mu ngeri y’emu, Arsenal ekyayagala omuzannyi y’omu kuba ye yasooka okumutokota era yassaayo obukadde bwa Euro 35 nga yaakwongerayo obukadde 5 kyokka nazo Ajax n’ezigoba. Mu lutalo luno, ManU y’esinga enkizo kuba omutendesi waayo, Eric ten Hag y’abadde atendeka Martinez mu Ajax kyokka abakulira Ajax bagamba nti tebajja kukkiriza ManU kubafootola. Arsenal efuuyirira kanwe, Ajax eremese ManU omuzannyi ono yo, eyongere ku ssente emutwale. Kigambibwa nti Martinez yategeezezza bakama b anti ayagala kugenda era nabo balabika baakumuleka agende kyokka ku ssente ezitali za kufootola. Arsenal eyagala kugula muzannyi ono ayambe ku Gabriel Magalhaes, mu kisenge wakati (ng’azannyisa kugulu kwa kkono) sso nga ManU eyagala omuzannyi y’omu kuba eyagala kweggyako bazibizi batakyagiyamba okuli; Phil Jones, Eric Baily abatakyalina lugendo mu ManU.
No Comment