CAF ekyusizza empaka za Afrika
Jul 04, 2022
Uganda eri mu kibinja F mu z'okusunsulamu empaka zino kyokka y'ekoobedde ku kabonero 1.

NewVision Reporter
@NewVision
EKIBIINA ekitwala omuzannyo gw’omupiira mu Afrika ekya CAF kikyusizza empaka za Afrika ezibadde ez’okubeerawo omwaka ogujja (2023) ne zizzibwa mu 2024.
Bino CAF yabirangiridde ku Ssande mu lukiiko olwabadde e Morocco awabumbujjira empaka za WAFCON (eza Afrika ez’omupiira gw’ebigere). Pulezidenti wa CAF, Patrice Motsepe yategeezezza nti beekengedde nti empaka ezibadde ez’okubeera mu Ivory Coast omwaka ogujja zanditaataaganyiziddwa nnyo namutikwa w’enkuba.
Kigambibwa nti mu biseera bya June ne July, Ivory Coast ebeeramu enkuba nnyingi nnyo nga n’oluusi emirimu mingi gitaataaganyizibwa. Kino CAF kye yeekendedde ng’egamba nti singa balemerako ne bategeka empaka mu June w’omwaka ogujja, kyandiviirako ttiimu oba abawagizi okufuna okutaataaganyizibwa. Mu mbeera eyo CAF we yasaliddewo empaka zino zizannyibwe mu 2024 mu January.
Motsepe, pulezidenti wa CAF.
“Tetusobola kweteeka mu buzibu kussaayo mpaka mu kiseera ekimanyiddwa nti kiyinza okuba obuzibu bw’enkuba. Omupiira oguzannyibwa mu nkuba teguba munyuvu kuba gulemesa abawagizi, abazannyi n’abantu abalala abakwatibwako okwetaaya,” Motsepe bwe yagambye.
Bwe yabuuziddwa oba ng’empaka zino zaakuzannyibwanga mu January, ekintu ttiimu za Bulaaya ezirina abazannyi Abafrika kye ziwakanya, Motsepe yagambye nti, ekyo tebannakituukako.
“Twagadde tusooke tukole ku nsonga eno ey’amangu ate tulabe ekinaddako,” Motsepe bw’agamba.
Kigambibwa nti CAF tegenda kuzzaayo mpaka zino kuzannyibwa mu January era bagamba nti embeera y’obudde mu Ivory Coast abategesi b’ez’omwaka ogujja y’ebawalirizza.
Uganda eri mu kibinja F mu z’okusunsulamu abalizannya empaka zino ne Algeria, Niger ne Tanzania. Uganda y’ekoobedde mu kibinja kino nga mu mipiira ebiri gye yaakazannya, erinamu akabonero kamu kokka. Algeria y’ekulembedde ku bubonero mukaaga. Senegal be balina ekikopo kino nga baakuba Misiri mu mpaka ezaali mu Cameroon mu January.
No Comment