Abazannyi ba Kitende bagudde mu bintu

Dec 20, 2023

ABAZANNYI ba ttiimu ya St Mary’s Kitende ey'abali wansi w’emyaka 15, Ssekukkulu baakugiriira mu ssanyu buli omu bw'aweereddwa ttivvi ne kavvu wa 300,000/- olw’okuwangula ekikopo kya CECAFA U-15 e Nairobi mu Kenya wiiki ewedde.

NewVision Reporter
@NewVision

ABAZANNYI ba ttiimu ya St Mary’s Kitende ey'abali wansi w’emyaka 15, Ssekukkulu baakugiriira mu ssanyu buli omu bw'aweereddwa ttivvi ne kavvu wa 300,000/- olw’okuwangula ekikopo kya CECAFA U-15 e Nairobi mu Kenya wiiki ewedde.

Baawangudde ttiimu ya Tanzania ku peneti 4-2 oluvannyuma lw’okulemagana (1-1) ku fayinolo.

Kitende, tebaakomye ku kuwangula kikopo wabula n’ekirabo ky'omuteebi w’empaka. Ttiimu eno yakomyewo ku nkomerero ya wiiki ewedde n'ewaayo ekikopo ne ceeke ya doola 100,000 (370,000,000/- mu za Uganda) bye baawangudde.

Clare Mulindwa, omumyuka wa Dr. Lawrence Mulindwa ku ssomero lino, yalabudde nti abazannyi bano obutassa mukono wabula bongere okulwanira obuwanguzi mu mpaka endala.

“Mwatuwadde essanyu ly'ekikopo era tubasiimye n’abatendesi bonna. Kati twagala kya Afrika kuba essanyu lyaffe liri mu kuwangula bikopo,” bwe yabagambye.

Okubasiima, abazannyi nabo baabakwanze ttivvi ekika kya Hisense ne kavvu wa mitwalo 30. Clare Mulindwa yagambye nti ttiimu eno yaakutandika okwetegekera ekya Afrika amangu ddala nga Ssekukkulu ewedde. Empaka zaakuzannyibwa mu March w'omwaka ogujja.

Kapiteeni wa ttiimu eno, Samuel Mubiru yategeezezza nti beetegefu okuwangula n’ekikopo kya Afrika.

Omutendesi Daniel Male alabudde abasambi obutalagajjalira misomo kuba omulembe gw’abataasoma gwaggwaako.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});