Bamusaayimuto bacamudde Ten Hag n'alabula bassiniya ba ManU

Jul 04, 2022

ManU yamalira mu kyamukaaga sizoni ewedde ekyagiviirako okusubwa okugenda mu Champions League.

NewVision Reporter
@NewVision

OMUTENDESI wa ManU, Eric ten Hag agambye nti abazannyi bassiniya abagayaavu beetegeke akatebe okubookya. Kiddiridde abazannyi abava mu akademi ya ttiimu eno okwolesa omutindo omusuffu ebbanga lye yaakabeera nabo mu kutendekebwa. Omudaaki ono agugumbudde eyali omutendesi wa ManU, Ralf Rangnick olw’okutuulira ebitone bya bamusaayimuto ne yeesibanga ku bassita ekyazza omutindo gwa ttiimu emabega.

Ten Hag atendeka ManU.

Ten Hag atendeka ManU.

Mu bazannyi abato Ten Hag be yayogeddeko nti bandibadde balungi okutandika mu ttiimu enkulu sizoni ewedde kuliko; Zidane Iqbal.

Omu ku bakungu abakola ne Ten Hag yagambye nti, “Omutindo musaayimuto ono gwe yayolesezza, gwaviiriddeko omutendesi okwebuuza lwaki babadde batuulidde ekitone kye ebbanga eryo lyonna!”

Yagasseeko nti Iqbal alina bassita bangi b’asinga era yandibadde atandika mu ttiimu enkulu. Mu bazannyi abalala abato abaacamudde omutendesi kuliko; Hannibal Mejbri ne Alejandro Garnacho, nabo abalaze omutindo ogw’enkawulo mu kutendekebwa. ManU yaakuggulawo sizoni ya Premier ne Brighton ku Ssande nga August 7.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});