Cranes ya CHAN etandise okwetegekera ogwa Tanzania
Jul 26, 2022
Vipers yetegekera mIpiira gya mikwano okuli Yanga FC eya Tanzania, APR eya Rwanda ne Arrows eya Zambia era nkakasa nti emipiira gino gijja kusa abazannyi mu mbeera nnungi naddala abo abali ku ttiimu y’eggwanga era bwebanegatta ku ttiimu bajja kubeera fiiti ekimala.

NewVision Reporter
@NewVision
TTIIMU y’eggwanga Cranes ey’abaguzannyira mu liigi y’awaka eri mukaweefube w’okulaba nga yetegekera ensiike wakati wa Tanzania oba Somalia mu z’okusunsula abalyetaba mu mpaka za CHAN omwaka ogujja.
Wiiki ewedde, omutendesi Micho Sredojevic yayungula ttiimu y’abazannyi 40, wabula leero mu kutendekebwa abazannyi 24 bebalabisseko ku kisaawe kya Kampala Quality.
Micho yagambye nti abazannyi abasinga bakyali ne kkiraabu zaabwe naddala Vipers ne BUL FC abali mu kwetegekera empaka za CAF Confederations Cupe ne CAF Champions League omwezi ogujja.
“Vipers yetegekera mIpiira gya mikwano okuli Yanga FC eya Tanzania, APR eya Rwanda ne Arrows eya Zambia era nkakasa nti emipiira gino gijja kusa abazannyi mu mbeera nnungi naddala abo abali ku ttiimu y’eggwanga era bwebanegatta ku ttiimu bajja kubeera fiiti ekimala.” Micho bwe yategezezza.
Mukutendekebwa okubadde okwakasameeme, Micho yagambye nti abazannyi abadde alina okubakamula okulaba nga bakomawo ku mutindo kuba babadde bawumudde nnyo bukya liigi ekomekkerezebwa mu May omwaka guno.
Uganda yakuttunka wakati wa Somalia ne Tanzania mu z’okusunsula wadde nga Tanzania erina emikisa mingi okuyitawo oluvannyuma lw’okuwangula oluzannya olusooka ku ggoolo 1-0 e Tanzania.
Oluzannya olusooka lwakubaawo wakati wa 26-28 August n’oluvannyuma Uganda ekyaze e Kitende nga 3 September.
Abazannyi abali mu nkambi;
Mu ggoolo; Nafian Alionzi, Emmanuel Kalyowa, Denis Otim , Mathias Muwanga.
Abazibizi: Najib Fesali , Joseph Bright Vuni , Kenneth Ssemakula , Walter Ochora , Gavin Kizito Mugweri , James Begisa , Hillary Onek , Brian Mato , Derrick Ndahiro, George Kaddu.
Abawuwuttanyi: George Kasonko , Titus Ssematimba, Saidi Kyeyune , Simon Peter Oketch .
Abateebi: Travis Mutyaba, Moses Aliro , Isma Mugulusi , Martin Kizza, Richard Basangwa , Oscar Mawa.
No Comment