Yusuf Babu yegasse ku bikonde bya pulo

Babu y’omu ku bakubi b’ebikonde abalungi mu Uganda olw’enwaana ze ezaabanga eza vvaawompitewo era ezisinga ng’aziwangula na tonziriranga.

Babu
By Fred Kisekka
Journalists @New Vision
#Yusuf Babu #Boxing #12 Sports Rounds Boxing Promotions

EYALI kapiteeni wa ttiimu y’eggwanga ey’ebikonde ‘The bombers’, Yusuf Babu ayingidde ebikonde bya pulofesono.

Babu y’omu ku bakubi b’ebikonde abalungi mu Uganda olw’enwaana ze ezaabanga eza vvaawompitewo era ezisinga ng’aziwangula na tonziriranga.

Akansiddwa kkampuni ya 12 Sports Rounds Boxing Promotions eya Stephen Sembuya omuzannyira Shadir Musa ne David Ssemujju abaakiikirira Uganda mu mizannyo gya Olympics e Japan. Baamuwadde endagaano ya myaka 2.

Babu akulidde mu COBAP Boxing Club ng’akiikiriddeko Uganda mu mpaka ez’enjawulo okuli eza Africa Boxing Championships mu 2017 e Brazaville mu Congo gye yamalira ku ‘quarter’.

Mu 2016 ne 2017 yawangulira Uganda zaabu mu mpaka za Bingwa wa Mabingwa e Tanzania mu buzito bwa ‘middle’. Mu kiseera kino azannyira mu buzito bwa ‘Heavy’ era aweze nga bw’agenda okuwumizza buli ali mu buzito buno.