Yusuf Babu yeepikira musipi gwa ggwanga mu bikonde

OMUGGUNZI w’enguumi Yusuf Babu ‘The Rolling Tiger’ yeesomye okusitukira mu musipi gw’eggwanga mu buzito bwa ‘Heavy’.

Yusuf Babu yeepikira musipi gwa ggwanga mu bikonde
By Fred Kisekka
Journalists @New Vision
#Ebyemizannyo

Bino wabyogeredde kyajje awangule Omutanzania Alphonce ‘Mchumiatumbo’ Masumbuko mu lulwana lwe olusembye olwabumbujjidde ku MTN Arena e Lugogo.

Babu ng'ajaganya Oluvannyuma Lw'okuwangula Omutanzania.

Babu ng'ajaganya Oluvannyuma Lw'okuwangula Omutanzania.

Yafukiridde Masumbuko enguumi eziringa amazzi ezamulese nga’boologera mu miguwa. Olulwana luno Babu yaluwangulidde ku bugoba 79-74, 80-72 ne 80-72.

Wano w’asinzidde okuwaga nti kati atunuulidde kuvuganya ku musipi gw’eggwanga ogwa ‘National Heavyweight title’. Mu kiseera kino, Nicholas Buule Kanyama w’omuyimbi Navio y’alina omusipi guno kyokka Babu agamba waakumupakira eng’uumi alabe n’abazungu.

Babu Ku Kkono Ng'awumiza Omutanzania Masumbuko Ku Ddyo.

Babu Ku Kkono Ng'awumiza Omutanzania Masumbuko Ku Ddyo.

Babu ajjukkirwa nnyo olw’okuduumira ttiimu y’eggwanga ey’ebikonde ‘The Bombers’ wakati wa 2016 ne 2017.

Yawangulirako The Bombers emidaali gya zzaabu ebiri mu mpaka za Bingwa wa Mabigwa mu 2016 ne 2017 kw’ossa okugikiikirirako mu mpaka za Africa Boxing Championship eza 2017 ezaali e Congo Brazaville. Mu mpaka zino yamalira ku luzannya lwa ‘Quarter’.