Kasim Ouma yeeweze okutimpula munnakenya Okwiri ayite ne nnyina!

MUNNAYUGANDA omuggunzi w’eng’uumi Kasim ‘The Dream’ Ouma ayingiddewo mu ggwanga wakati mu kwetegekera olulwana lwe ne munnakenya Rayton Okwiri.

Kasim Ouma yeeweze okutimpula munnakenya Okwiri ayite ne nnyina!
By Fred Kisekka
Journalists @New Vision
#Ebyemizannyo

Ouma ne Okwiri baakulya matereke ku Boxing Day eno nga December  26, ku Lugogo Cricket Oval.

Ouma nga yaakatuuka Entebbe ku kisaawe.

Ouma nga yaakatuuka Entebbe ku kisaawe.

Baakuttunkira lawundi 10 mu buzito bwa Middle kiro 75 mu lulwana olusuubirwa okubaako vvaawo mpiteewo.

Luno lwe lulwana Ouma lw’agenda okusooka okuzannyira mu Uganda bukya atandika kuzannya bikonde bya nsimbi 1999.

Ku kisaawe Entebbe ayaniriziddwa nnamungi w’abawagizi be omubadde ne Salim Uhuru, Pulezidenti wa UPBC akakiiko akatwala ebikonde eby’ensi mu ggwanga ne Stephen Sembuya owa 12 Sports Round Boxing Promotions etegese olulwana luno.

Abawagizi ba Kassim nga bayisa ebivvulu mu kkubo okulaga obuwagizi bwabwe.

Abawagizi ba Kassim nga bayisa ebivvulu mu kkubo okulaga obuwagizi bwabwe.

Ajjukirwa okuteeka Uganda ku mmaapu bwe yawangula omusipi gw’ensi yonna ogwa ‘IBF World Junior middleweight title’ mu 2004 bwe yakuba Omumerika Verno Phillips n’amuleka ng’aboloogera mu miguwa.

Mu nnwana endala ezigenda okuzannyibwa, Yusuf Babu ‘The Rolling Tiger’ waakuttunka n’Omutanzania Alphonse Mchumiatumbo mu buzito bwa Heavy, David Ssemujju bumwefuke n’Omutanzia omulala Salehe Mkalekwa ku musipi gwa ABU regional Super Welter weight title, Kamada Ntege ‘Sure Fire’ ne Meddie Bukenya, Isaac Ssebuufu ne Mubarak Seguya ‘General Sensor’ balwanire omusipi gw’eggwanga mu buzito bwa ‘Light welter’ n’endala.