Kampala Queens ekansizza Nakigozi ne yeenyweza
Sep 13, 2022
Yateeba ggoolo musanvu sizoni ewedde era nga tanneegatta ku Uganda Martyrs Lubaga, yazannyidde ttiimu okuli; UCU Lady Cardinals, Muteesa I Royal University ne Lady Doves FC.

NewVision Reporter
@NewVision
MU kaweefube w’okulaba nga basitukira mu kikopo kya sizoni ejja, Kampala Queens ezannyira mu liigi ya babinywera ey’abakazi ekansizza omuwuwuttanyi wa Uganda Martyrs Lubaga, Elizabeth Nakigozi.
Nakigozi eyali ssita wa ttiimu eno sizoni ewedde bwe yagiyamba okumalira mu kyokusatu ku bubonero 34 mipiira 18.
Nakigozi bwe yali akulukuta n'omupiira.
Yateeba ggoolo musanvu sizoni ewedde era nga tanneegatta ku Uganda Martyrs Lubaga, yazannyidde ttiimu okuli; UCU Lady Cardinals, Muteesa I Royal University ne Lady Doves FC.
Nakigozi ye muzannyi owoomukaaga, Kampala Queens gwe yaakakansa mu katale k’abazannyi era yeegasse ku bazannyi okuli; Daisy Nakaziro, Grace Aluka, Sumayya Komuntale, Teddy Najjuma, ne Asia Nakibuuka.
Kampala Queens eggulawo liigi ya sizoni eno ku Ssande ne Asubo Gafford Ladies abaakeegatta mu liigi nga bava mu kibinja ekyokubiri.
No Comment