Omutindo gwa musaayimuto gucamudde abawagizi ba Villa

Nov 01, 2022

Kakande asoma siniya eyookutaano ku Uganda Martyrs Lubaga era guno gwabadde mupiira gwe ogusooka mujoozi gwa SC Villa. 

NewVision Reporter
@NewVision

OMUYIZI ku ssomero lya Uganda Martyrs, Patrick Kakande y’akyayogerwako abawagizi ba SC Villa nti y’ajja okubbulula ttiimu eno. Omuzannyi ono yayolesezza omutindo omusuffu bwe yateebye ggoolo y’obuwanguzi ku Lwokutaano nga Villa emegga Busoga United (1-0). 

Kakande asoma siniya eyookutaano ku Uganda Martyrs Lubaga era guno gwabadde mupiira gwe ogusooka mujoozi gwa SC Villa. 

Kakande yawangudde eky'obuzannyi bw'olunaku.

Kakande yawangudde eky'obuzannyi bw'olunaku.

Jackson Magera n’omumyuka we Ibrahim Kirya baakoze enkyukakyuka ng’omupiira gukyalemedde mu maliri ga (0-0), wabula mu ddakiika y’e 80, Kakande olwayingidde ekisaawe n’assaawo omutindo ogwacamudde abawagizi. 

Zaabadde ziwera eddakiika 85, Kakande n’ateeba ggoolo makula eyaggye abatendesi n’abawagizi ku puleesa era ne batandika okuyimba ennyimba ezimusuuta. 

Ono ye yabadde omuzannyi w’olunaku bwe yasitukidde n’asitukira mu kavvu wa 100,000/- n’ayamba ne ttiimu ye okudda mu kifo kyokubiri ku bubonero 10 mipiira 5. Bakomawo mu nsiike ku Lwokutaano bwe banaaba battunka ne Wakiso Giants. 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});