Atub wa Kawempe Muslim ttiimu emutabuseeko!

Apr 11, 2022

OMUTENDESI wa ttiimu y'eggwanga eyabakazi ne Kawempe Muslim Ladies, Ayub Khalifah Kiyingi liigi y'abawala eya FUFA Women Super League emutabukidde. 

NewVision Reporter
@NewVision

Kawempe Muslim LFC 0-2 She Corporate FC 

Emipiira ebiri egyisembyeyo Khalifah gyombi akubiddwa nga kati mipiira 10 gye baakazannya alinamu wiini 3 zokka era ttiimu y'emu ku zirwana obutasalwako sizoni eno. 

Ku Lwokusatu, Uganda Martyrs Lubaga yamukubye 3-1 kyokka ne ku Ssande She Corporate FC n'emulumba omwaayo e Kawempe n'emukuba 2-0  ezaateebeddwa Favour Nambatya ne Naume Nagadya ne guba nti emukubye awaka ne mu kibira sizoni eno ekintu ekitabangawo. 

Khalifah yagambye nti mu butuufu sizoni eno baali tebaagyetegekera bulungi kuba ttiimu endala zaali mu katale nga zigula abazannyi ab’enjawulo saako n’okutendekebwa okwakaasammeeme nga bbo batunula butunuzi era tebafuna mukisa gwonna guzannya mipiira gy’amukwano nga bagezesa ttiimu ya sizoni. 

“Ekikopo kya sizoni eno tukivuddeko wabula essira tugenda kulissa mu kulaba nga tuwangula emipiira gyaffe egyisigadde nga tulwanyisa kyabe kuba ttiimu ekola bubi naddala mu luzannya olwasooka.” Khalifah bwe yategezezza. 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});