Owa UCU aweze okukomawo n'amaanyi mu za University League

Nov 01, 2022

Collins, eyagenze mu byafaayo ng’omutendesi omukazi akyasoose okutuusa ttiimu y’omupiira gwa yunivasite ku luzannya lwa semi, yalemeddwa okuyisaawo Uganda Christian University nga bakubiddwa Uganda Martyrs University Nkozi mu peneti. 

NewVision Reporter
@NewVision

OMUTENDESI wa UCU Lady Cardinals, Collins Ahumuza, yafunye amaziga ga mirundi ebiri ku wiikendi oluvannyuma lw’okuwadulwa mu mpaka za yunivasite ng’ali ne ttiimu ya UCU ey’omupiira gw’abawala saako n’okukubwa mu liigi y’abawala ng’ali ne UCU Lady Cardinals. 

Collins, eyagenze mu byafaayo ng’omutendesi omukazi akyasoose okutuusa ttiimu y’omupiira gwa yunivasite ku luzannya lwa semi, yalemeddwa okuyisaawo Uganda Christian University nga bakubiddwa Uganda Martyrs University Nkozi mu peneti. 

Ne ku Lwomukaaga, Ahmumuza yabadde asuubira okufuna essanyu ku ttiimu y’abakazi ey’omupiira gw’ebigere (UCU Lady Cardinals) kyokka Uganda Martyrs Lubaga n’ebakuba ggoolo 4-1 mu nsiike eyabadde mu kisaawe e Lubaga. 

Ahumuza ng'ayogerako n'abaamawulire.

Ahumuza ng'ayogerako n'abaamawulire.

Ahumuza yagambye nti wadde teyasobodde kutuusa ttiimu ye ku fayinolo y’omwaka guno mu mpaka za yunivasite, yeenyumiriza mu bazannyi be ssaako omutindo ogw’enjawulo gwe baayolesezza. 

“Olunaku telwabadde lwaffe wabula ng’enda kukola ekisoboka kyonna okulaba nga tuwangula ensiike eddako kuba abazannya nja kubawa obudde obumala,” Ahumuza bwe yategeezezza. 

Sizoni eno UCU Lady Cardinals ebadde tennakubwamu mupiira gwonna ku bugenyi nga bakwata ekifo kyakusatu n’obubonero 10. 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});