Isabella Blick owa ddigi atandise okuzannya omupiira
Nov 01, 2022
Isabella muwala wa William Blick, guno gwe gwabadde omupiira gwe ogusooka ku katebe ka ttiimu ya Uganda Martyrs nga battunka ne UCU Lady Cardinals ku Lwomukaaga.

NewVision Reporter
@NewVision
EYALIKO kafulu mu kubonga ddigi, Isabella Blick atandise kaweefube we okuzannya omupiira mu liigi y’abakazi. Ono yalabiseeko ku katebe ka ttiimu ya Uganda Martyrs ezannyira mu liigi y’abakazi eya FUFA Women Super League.
Isabella muwala wa William Blick, guno gwe gwabadde omupiira gwe ogusooka ku katebe ka ttiimu ya Uganda Martyrs nga battunka ne UCU Lady Cardinals ku Lwomukaaga.
Isabella ajjukirwa nnyo muzannyo gw’okubonga ddigi ne muto we William Blick abamaze akaseera nga beefuze omuzannyo ogwo ne bawangula engule ez’enjawulo mu ggwanga ne ku lukalu lwa Afrika.
Uganda Martyrs yamezze UCU Lady Cardinals (4-1) mu liigi ne yeenywereza mu kyokubiri ku bubonero 13 mipiira mukaaga era Isabella.
No Comment