SHAKIRAH Nyinagahirwa eyawangudde engatto mu mupiira gw'abawala bagimukwasizza

May 03, 2023

SHAKIRAH Nyinagahirwa eyasitukidde mu ngatto oluvannyuma lw’okuteeba ggoolo 12 n’okubeera omuzannyi eyasinze okucanga akapiira mu liigi y’omupiira gw’abakazi eya FUFA Women Super League sizoni ya 2022/23, abukeezezza nkokola ku kitebe kya FUFA ekiddukanya omupiira mu ggwanga okukwasibwa engule ze. 

NewVision Reporter
@NewVision

Nyinagahirwa omuwuwuttanyi wa Kawempe Muslim abadde ne sizoni ennungi omwaka guno oluvannyuma lw’okuteeba ggoolo 12 n’okuyamba ttiimu ye okumalira mu kifo eky’okubiri mu liigi y’ababinywera. 

Ono yabadde avuganya n’abazannyi okwabadde Ashait Nalugwa (UCU Lady Cardinals) ne Resty Nanziri owa Kampala Queens eyamazeeko ne ggoolo 11. 

Nyinagahirwa ng’akwasibwa engule ze yebazizza bazannyi banne abamusobosezza okutuuka ku buwanguzi buno saako n’abatendesi abamufudde omuzannyi ow’enjawulo sizno. 

“Singa si bazannyi bannange n’abatendesi bange saako n’abawagizi sandituuse ku buwanguzi buno wabula ndi musanyufu era sigenda kuddiriza.” Nyinagahirwa bwe yategezezza. 

Sizoni ewedde, Hasifah Nassuna yeyasitukira mu ky’omuzannyi eyasinga okuteeba ggoolo 15. 

Related Articles

No Comment

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});