Uganda erwana kweggyako kikwa mu mpaka za CHAN
Oct 03, 2022
Emirundi etaano Cranes gye yeetabye mpaka za CHAN, tevangako mu bibinja era ku mulundi guno erwana kweggyako kikwa kino.

NewVision Reporter
@NewVision
Ebibinja bya CHAN nga bwe byakwatiddwa
Ekibinja A - Algeria, Libya, Ethiopia, Mozambique
Ekibinja B - DR Congo, Uganda, Ivory Coast, Senegal
Ekibinja C - Morocco, Sudan, Madagascar, Ghana
Ekibinja D - Mali, Angola, Mauritania
Ekibinja E - Cameroon, Congo, Nigeria
AKALULU k’empaka za CHAN, Uganda kaagisudde mu kibinja B ekikakali omuli; DR Congo bakyampiyoni ba ekikopo kino emirundi ebiri (2009 ne 2016) kwossa Ivory Coast ne Senegal.
Empaka zino ezeetabwamu abazannyi abazannyira mu liigi z’awaka bokka, zaakubaawo wakati wa January 8 -31, 2023 mu kibuga El Djazair ekya Algeria. Uganda emyaka emirundi etaano gye yaakazeetaba (2011, 2014, 2016, 2018 ne 2020) gyonna tevangako mu kibinja.
Omulundi guno oluvannyuma lw’abamu ku bazannyi okuli; Allan Okello, Abdul Lumala, Moses Waiswa, Derrick Nsibambi, Milton Karisa n’abalala ababadde ku pulo ne bakomawo mu liigi ya wano, eggwanga libataddeko eriiso ejjogi okulaba nga basitula ttiimu eno okuva mu kibinja.
Uganda okwesogga ebibinja bya sizoni eno yaggyamu Tanzania ku mugatte gwa ggoolo (4-0) ezaateebwa Travis Mutyaba (1-0) ku bugenyi ate Moses Waiswa, Rogers Mato ne Richard Basangwa ne bakimaliriza (3-0) awaka ku St. Mary’s e Kitende.
No Comment