Gadaffi FC ewadde omutendesi waayo Wasswa Bbosa ekigezo
Oct 03, 2022
"Ndeese abazannyi abalungi mu buli kitongole era njagala kufuula ttiimu eno emu ku zigenda okussaawo okuvuganya. Abazannyi be nfunye bajja kunnyamba okumalira bana abasooka mu liigi kuba bazannya n’omutima ogwagala."

NewVision Reporter
@NewVision
OLUVANNYUMA lw’okwanjula ttiimu y’abazannyi n’abatendesi ku mukolo ogwabadde ku kisaawe kya Gadaffi Arena ku Lwomukaaga, abakungu ba Gadaffi FC batadde omutendesi Wasswa Bbosa n’abamyuka be ku nninga okugiyamba okumalira mu bana abasooka sizoni eno.
Pulezidenti wa kiraabu, Edrine Ochieng yabyogedde oluvannyuma lw’okwanjula mu butongole omutendesi n’abamyuka be ssaako abazannyi abaakansiddwa.
"Sizoni eyasooka mu liigi twagikozesa kuyigirako liigi bw’ezannyibwa, wabula eno Wassw Bbosa tumuwadde buli muzannyi gwe yasaba era teri kye yeekwasa kinaamulemesa okuyamba kiraabu yaffe okumalira mu bifo ebina ebisooka mu liigi. Naye bw’aba atuwangulidde liigi nakyo si kibi," Ochieng bwe yalabudde.
Ne Bbosa yakkirizza bwe yafunye abazannyi be yasaba.
"Ndeese abazannyi abalungi mu buli kitongole era njagala kufuula ttiimu eno emu ku zigenda okussaawo okuvuganya. Abazannyi be nfunye bajja kunnyamba okumalira bana abasooka mu liigi kuba bazannya n’omutima ogwagala," Bbosa bwe yagambye.
Bbosa amyukibwa George Lutalo ne Hassan Zungu. Sam Kawalya y’atendeka baggoolokipa ate Ayub Balyejusa y’avunaanyizibwa ku by’omutindo gw’abazannyi.
Wabula wadde nga yaleese abazannyi ab’amannya nga Bbosa awaga, mu gwagguddewo liigi, baakubiddwa Villa (2-0) e Wankuluku. Abazannyi b'amannya be balina kuliko; Nicholas Kasozi, Godfrey Lwesibawa, Joel Mutakubwa, Simon Sserunkuuma, Mahad Kakooza Yaya, Richard Basangwa ne Elvis Ngonde.
No Comment