Bamukalize emyaka 15 nga teyeenyira mu kulamula mipiira
Dec 21, 2022
“Akakiiko kakizudde nga Kalibbala ku mupiira gwa Tooro United ng’ettunka ne UPDF nga November 30, ssaako ogwa Gadaffi FC ne Onduparaka December 21 yafuna ekyojamumiro.”

NewVision Reporter
@NewVision
EKIBIINA ekiddukanya omupiira mu ggwanga ekya FUFA nga kiyita mu kakiiko akakwasisa empisa aka Ethics and Disciplinary Committee kakalize omukommonsi wa ffirimbi John Bosco Kalibbala emyaka 15 ssaako obuteenyigira mu nsonga za mupiira gwonna mu ggwanga n’ebweru waalyo.
Okusalawo kuno kwakoleddwa oluvannyuma lw’akakiiko okukola kaweefube yenna n’efuna obujulizi obukaliga Kalibbala.
Kalibbala mutabani wa Chris Kalibbala addukanya omupiira mu FUFA, yasingisiddwa emisangio ebiri.
“Akakiiko kakizudde nga Kalibbala ku mupiira gwa Tooro United ng’ettunka ne UPDF nga November 30, ssaako ogwa Gadaffi FC ne Onduparaka December 21 yafuna ekyojamumiro,” ssentebe w’akakiiko kano Deo Mutabazi bwe yagambye.
FUFA ebadde nkambwe nnyo ku baddiifiri abalya ssente ssaako n’okusiba zzaala. Omwaka oguwedde, ddiifiri Ronald Madanda yakaligibwa emyezi mukaaga nga teyeenyigira mupiira gwonna lwa nsonga ze zimu.
No Comment