Aba Beach Soccer bawonye obupangisa

Sep 18, 2021

EKIBIINA ekiddukanya omupiira gw’oku musenyu mu ggwanga (Beach Soccer) kiwonye okupangisa ebisaawe by’e Ntebbe bwe kifunye yiika y’ettaka emu kwe kigenda okuzimba ekisaawe.

NewVision Reporter
@NewVision

Kino ekimanyiddwa nga ‘Uganda Beach soccer association (UBSA)’ ky’eyubulidde ku ssomero lya  Kisansya Primary School okuli ettaka lino mu Ggombolola y’e Buliisa, mu Ligyoni y’e Kitara kwe bagenda okuteeka ekisaawe eky’obwanannyini.

Deo Mutabazi ssentebe w’ekibiina kino wansi wa FUFA agamba nti kino kibadde kimu ku birooto byabwe ng’ekibiina era baakwongera okusaasaanya omuzannyo mu ligyoni za Uganda ez’enjawulo mu kaweefube w’okugutumbula n’okufuna ebitone eby’enjawulo.

“Ebbula ly’ebisaawe mu ggwanga kikyali kizibu kinene eri omupiira gwa Uganda naye aba bbiiki okutuuka ku kino guba mulimu munene ogwoleka nti tugenda mu maaso ate tetugenda kukoma wano,” Mutabazi bwe yategeezezza.

Deo Mutabaazi (2)

Deo Mutabaazi (2)

Ettaka lino lyayanjuddwa mu butongole ku Lwokuna (September 16, 2021) ku mukolo ogw’abaddeko ne Mmeeya wa Buliisa (Epafurah Muliisa), Ali Mwebe (Direkita w’omupiira mu FUFA), Bashir Mutyaba (ow’ebyekikugu mu UBSA), Tonny Ssebaggala ( akulira okutegeka empaka mu UBSA) Julius Mutebi (omwogezi wa UBSA) n’abalala.

Muliisa yayanirizza enkyukakyuka eno mu Ligyoni y’e Kitara era n’asuubiza okukunga abavubuka abalina ekitone ky’omupiira okwenyigira mu nkulaakulana eno.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});