FUFA eragidde omupiira gw'empaka za Stanbic Uganda Cup wakati wa SC Villa ne BUL okuddibwamu
Feb 26, 2023
AKAKIIKO akakwasisa empisa mu FUFA kasazizzaamu ggoolo zonna ezaali zaateebebwa mu mupiira gwa Stanbic Uganda Cup wakati wa BUL FC ne SC Villa era nekalagira guddemu okuzannyibwa.

NewVision Reporter
@NewVision
February 17, 2023, BUL FC abalina ekikopo kya Stanbic Uganda Cup baawandulamu SC Villa (1-0) ku mutendera gwa ttiimu 32 wabula okusinziira ku FUFA omupiira guno gwalimu amankyolo olw’omutindo gwa ddifiri ogw’ekiboggwe.
SC Villa yawandiikira FUFA nga yeemulugunya ku ggoolo yaabwe Charles Bbaale gye yali abateebedde mu ddakiika ey’e 88 wabula omuyambi wa ddifiri Khalid Muyaga eyali ku katambaala n’agisazaamu nti Bbaale akuumye ekitaali kituufu.
BUL FC ye yali esoose okuteeba mu mupiira guno ng’eyita mu Ronald Otti, olwo SC Villa n’efuna eyeekyenkanyi mu y’e 88 eyattibwa.
SC Villa era yeemulugunya ku ngeri BUL FC abaali babakyazizza ku kisaawe kya FUFA Technical Center e Njeru gye basooka okubagaana okuyingira akasenge abazannyi gye balina okwambalira, mbu kino kyakereyesa Villa okufuna obudde obumala okubuguma ng’omupiira tegunatandika.
Akakiiko ka FUFA bwe kaalondodde ensonga zino, nga kayita mu kwetegereza obutambi obwakwatibwa ng’omupiira gugenda mu maaso, kaakizudde nga ggoolo ya Villa yali ntuufu ate bwe kaakunyizza omuyambi wa ddifiri Muyaga, yakkirizza nti yakola ensobi eyateeba ggoolo yali takuumye.
Okusinziira ku kiwandiiko okuva mu FUFA nga kiteereddwaako omukono Deo Mutabazi ssentebe w’akakiiko akakwasisa empisa, kyalagidde omupiira guddibwemu.
Wabula ekiwandiiko kyagobye ebyekwaso bya SC Villa okubalemesa okuyingira akasenge abazannyi gye bambalira nti tewaabadde bujjulizi bumala.
Omupiira guno okuddibwamu, buli ttiimu yaakwesasulira byonna ebyetaagisa okuddamu okugutegeka okuli; okusasula baddifiri abalala, okutambuza ttiimu n’ebirala bingi.
No Comment