Akakiiko ka liigi kakoze enkyukakyuka mu mipiira
Dec 08, 2022
Ttiimu y’eggwanga esuubirwa okulangirirwa wiiki ejja okugenda mu nkambi e Kisaasi okuva nga December 21.

NewVision Reporter
@NewVision
Wakiso Giants FC vs Arua Hill, Wakiso (8:00)
Busoga United FC vs Vipers SC, Kakindu (10:00)
Gadaffi FC vs URA FC, Kakindu, Jinja (10:00)
Bright Stars FC vs KCCA, Kavumba (10:00)
Ku Lwokusatu, December 21;
Express FC vs Blacks Power FC, Wankulukuku (10:00)
BUL FC vs Maroons, Njeru (10:00)
Onduparaka FC vs UPDF FC, Arua (10:00)
AKAKIIKO akaddukanya liigi y’eggwanga eya StarTimes Uganda Premier League kakoze enkyukakyuka mu nsengeka y’emipiira nga beewala okuyingirira enteekateeka za ttiimu y’eggwanga eya Cranes. Ttiimu y’eggwanga ey’abaguzannyira awaka eri mu kwetegekera mpaka za CHAN ezigenda okubeera mu Algeria omwaka ogujja.
Ttiimu y’eggwanga esuubirwa okulangirirwa wiiki ejja okugenda mu nkambi e Kisaasi okuva nga December 21. Okusinziira ku nkyukakyuka ezaakoleddwa, oluzannya olusooka lugenda okukomekkerezebwa, ku Lwokubiri emipiira gino lwe giggya okuzannyibwa.
No Comment