Mu ‘quarter’ za Pepsi University League
MUBS (1) 1-2 (4) Kyambogo
KYAMBOGO yaggyeewo likodi ya MUBS ey’emipiira 8 nga tekubwamu sizoni eno bwe yagirumbye e Nakawa n’egikubirayo ggoolo (2-1) mu gw’okudding’ana ku ‘quarter’ za Pepsi University Football League.
MUBS yawangula ensiike eyasooka (2-1) ku kisaawe kya Kyambogo wiiki bbiri emabega, kino kyabatadde ku mugatte gwa ggoolo (3-3) ne bagenda mu peneti.
Patrick Kawooya owa Kyambogo (ku kkono) ne Silvester Andama owa MUBS.
Andrew Ahebwomugisha, ggoolokippa wa Kyambogo yaggyeemu peneti ya Peter Ssebaggala ne Raymond Witakire aba MUBS ate Hudson Mbalire, Pascal Junior Miiro, kapiteeni Desmond Oluka ne Joram Laker ne bateebera Kyambogo. Arnold Odongo ye yekka eyateebedde MUBS peneti emu yokka gye yafunye.
Mu ddakiika 90, Sharif Ssengendo ye yasoose okufunira MUBS ggoolo mu ddakiika eyookutaano olwo abawagizi ne bawaga wabula Joel Nkwanga ne Joram Laker baateebye ezaasirisizza MUBS.
Guno gwe mupiira ogwasoose MUBS okukubwamu sizoni eno era gwe gwagiremesezza okwesogga semi. Omutendesi waabwe Ali Zzinda yeetondedde abawagizi nti abazannyi baanyoomye Kyambogo naye ensobi zino bagenda kuzitereeza sizoni ejja.
Ggoolokipa wa Kyambogo, Ahebwomugisha eyakutte peneti ebbiri ng'awaga.
Eno ye wiini ya Kyambogo esoose ku MUBS mu mipiira 9 gye baakasisinkana. MUBS ebadde yaakawangulako (5) okuli fayinolo ya 2014 e Namboole, amaliri ga mirundi esatu.
Kyambogo kati yeegasse ku Uganda Christian University (UCU), Uganda Martyrs University Nkozi (UMU) ne St. Lawrence University (SLAU) ezirinze akalulu ka semi.