MAKERERE University Business School (MUBS) esambira nnyuma nga jjanzi bw’ekomezeddwaawo mu semi za liigi ya yunivasite oluvannyuma lw’okuwangula omusango gwa Kyambogo gy’erumiriza okuzannyisa omucuba.
Wiiki ewedde nga Kyambogo ekyalidde MUBS e Nakawa, yagiwandulidde ku peneti (4-1) mu gw’okudding’ana ku ‘quarter’. Mu ddakiika 90, Kyambogo yawangudde (2-1) wabula ne MUBS yali yawangula (2-1) mu gwasooka e Kyambogo.
Oluvannyuma lw’omupiira ogwo, MUBS yawandiikidde akakiiko akakwasisa empisa mu liigi ya yunivasite (Pepsi University Football League) nga yeemulugunya ku ggoolokipa wa Kyambogo, Amir Serugo, nti tali ku lukalala lw’abazannyi abaaweebwayo kyokka n’azannyira mu linnya lya Andrew Ahebwomugisha.
Andrew Ahebwomugisha ggoolokippa wa Kyambogo.
Mu mupiira guno, Serugo eyeeyise Ahebwomugisha era yaggyeemu peneti za MUBS bbiri okuli eya Peter Ssebaggala ne Raymond Witakire, ekyawadde Kyambogo wiini ku peneti (4-1).
Ku Lwokubiri, akakiiko akakwasisa empisa kaafulumizza ekiwandiiko okuyita mu ssentebe waako Bernard Bainamani nga kagoba Kyambogo mu mpaka zino ssaako okutanza n’akulira emizannyo ku yunivasite eno emitwalo 30.
Kyambogo yaweereddwa essaawa 24 okujulira ku nsonga eno. Kyambogo ebadde yaakuzannya ne St. Lawrence ku semi wabula okusinziira ku kiwandiiko kino, MUBS y’egenda okuttunka ne St. Lawrence.