Vipers SC ewandudde TP Mazembe mu za CAF Champions League n'egobesa omutendesi

Oct 16, 2022

PENATI za Bright Anukani, Dissan Galiwango, Ashraf Mandela ne Olivier Osomba zisindise Vipers SC mu bibinja by’empaka za CAF Champions League omulundi ogusookedde ddala mu byafaayo.

NewVision Reporter
@NewVision

CAF Champions League

TP Mazembe 0(2)-0(4) Vipers SC

Eggulo Lwamukaaga Vipers bakyampiyoni ba liigi y’eggwanga baawanduddemu TP Mazembe eya DR. Congo mu z’okusunsulamu ttiimu ezigenda mu bibinja bya Champions League w’Afrika bwe baagikubye penati (4-2) oluvannyuma lw’eddakiika 90 okuggweera mu maliri (0-0).

Wiiki emu emabega TP Mazembe bwe baakyalira Vipers ku St. Mary’s e Kitende, ttiimu zombi tewali yalaba katimba ka munne nga n’ogwokudding’ana bwe gw’awedde. Tandu Mwape ne Glody Likonza be baalemeddwa penati ebbiri eza bannyinimu bwe baazikubye ebweru.

Ttiimu ya Vipers eyattunse n'eya TP Mazembe n'ebamegga

Ttiimu ya Vipers eyattunse n'eya TP Mazembe n'ebamegga

Vipers okutuuka mu mutendera guno ogusembayo, yasooka kuwandulamu Olympic Real de Bangui eya Central African Republic ku mugatte gwa (4-0) oluvannyuma lwa wiini (3-0) ku bugenyi ne (1-0) awaka.

Guno gubadde mulundi gwakuna nga Vipers ekiika mu z’okusunsulamu zino ku lukalu lw’Afrika wabula ng’eremererwa okwesogga ebibinja.

2016 baawandulwamu Enyimba FC eya Nigeria mu za CAF Champion League, 2017 mu za CAF Confederations, baayitirawo ku ggoolo y’oku bugenyi ku mutendera ogusooka bwe baakola amaliri (0-0) awaka ne (1-1) ewa Volcano de Moron eya Comoros. Wabula omutendera ogwokubiri baawandulwamu Platinum Stars eya South Africa ku mugatte gwa (3-2).

2020 mu za CAF Champions League baawandulwamu AL Hilal eya Sudan ku mugatte gwa ggoolo (2-0) oluvannyuma lw’okukubwa 1-0 awaka ne kubugenyi.

Vipers kati ye kiraabu ya Uganda eyookubiri mu byafaayo okwesogga ebibinja bya CAF Champions League oluvannyuma lwa KCCA FC eyakikola mu 2018.

Mu ngeri y'emu abadde omutendesi wa TP Mazembe Omufalansa Franck Dumas yakwatiddwa ku nkoona n'abamyuka be bonna oluvannyuma lw'okukubwa Vipers.

Ttiimu ya Vipers eyazannye;

Alfred Mudekereza, Ashraf Mandela, Isa Mubiru, Livingstone Mulondo, Murushid Juuko, Hillary Mukundane, Siraje Ssentamu, Olivier Osomba, Abdu Lumala, Milton Karisa, Yunus Sentamu. Ku katebe: Fabien Mutombora, Disan Galiwango, Bashir Asiku, Cromwell Rwothomio, Marvin Joseph Youngman, Bright Anukani, Abubakar Lawal

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});