Vipers ekole bino okwaka mu za CAF

Dec 29, 2022

OMUTENDESI wa Vipers, Roberto Oliviera tasaanye kutya na kuwa kiraabu z'ali nazo mu kibinja kya Champions League kitiibwa kisukkiridde. Afube kufalaasira bateebi be batandike okukubira emipiira ewala.

NewVision Reporter
@NewVision

Omutindo gw’abateebi ba Vipers (Milton Karisa, Yunus Sentamu ne Cromwell Rwothomio) mu liigi gulaze nti beetegefu okuwa Bannayuganda essanyu ng’emipiira gitandise kuba bonna kati bakoledde.

Rwothomio yekka y’abadde tannateeba nga Steven Mukwala bw’abadde mu Asante Kotoko kyokka nga kati ekikwa mu liigi ya Ghana yakimazeewo era kati kiraabu kw'eyimiridde. Ne Rwothomio abadde tannateebera Vipers mu liigi okutuusa lwe yakikoze ku Maroons nga bagiwangula 3-0 mu liigi.

Abateebi b’ennaku zino balina obuzibu bwe bumu nti tebaagala kuwa bannaabwe mipiira, ekibawaliriza okwagala okuteebera mu ntabwe nga batya nti bwe bakubira omupiira wabweru wa bookisi, ggoolokipa n’awandagala, omulala yanditeeba n'amubbako ‘sho’, ekisse omupiira.

Oliviera kino asaanye akitangire abateebi be kuba kiraabu yonna okukola obulungi, abazannyi balina okuzannya nga ekitole nti munno bw'ateeba, mwenna muba muyambye ttiimu okuwangula.

Vipers etandise okunsanyusa kuba bw’oba olina abateebi 5 nga bonna bakozesa emikisa gyabwe, abazibizi ne bwe baba babi, kiraabu esobola okufuna obuwanguzi. Noolwekyo, Oliviera essira aliteeke nnyo ku bateebi, bayige okukuba emipiira egy'ewala.

Bw’otunuulira ekibinja C mwe bali ne Horoya, Simba ne Raja Casablanca, olabira ddala nti emikisa gy’okuva mu kibinja giri mu 60 ku 100 singa Oliviera akuuma omutindo gw'abateebi be.

Okuwangulwa Gaddafi ne Busoga tekisaanye kumalamu Vipers maanyi wabula kyongere kugiteekateeka, yeetereeze nga bukyali.

Bw’oba osobola okuwandulamu TP Mazembe, eyaakawangula ebikopo 5 ebya CAF, oba tokyali mutene atiisibwatiisibwa. Bw’owangula emipiira gy'awaka gyonna n’ofuna n'amaliri 2 ku bugenyi, ekibinja oba okisomose. Wano Vipers w'erina okutunula.

Vipers tesaanye kukkiriza kyaliwo ku TP Mazembe awaka, bwe yabasuula amaliri. Emikisa gya Mazembe okuyitamu gyali mingi naye Katonda yazza bibye. Okwewala ebyo, Vipers erina kusinga kuwangulira waka.

Nnannyiniyo, Dr. Lawrence Mulindwa asaanye ategeke abakessi balondoole enzannya y'abo bwe bali mu kibinja. Simba ng'ekyazizza Raja, abakessi ba Vipers balina okuzuula sisiitimu gye bazannya.

Mulindwa bw'anaakikola, emikisa gya Vipers okuva mu kibinja giri waggulu. Wano we wabadde obuzibu bwa kiraabu za Uganda ne Cranes nga abavunaanyizibwa tebafaayo kulondoola nzannya za balabe sso nga ensimbi ezikikola baba nazo.

Omuko guno nguwaddeyo eri abateebi ba Vipers ne mbasaba baveemu omuze gw’obutakolera wamu. Villa we yakoleranga obulungi mu myaka gy'e 90 ng'abateebi baayo (Majid Musisi, Peter Nsaba, Robert Semakula, Idd Batambuze ne Paul Mukatabala) baagalana.

Kino kyagitumbula nabo bennyini. Okuzannya omupiira nga mwagalana kireetera kiraabu okukola obulungi.

Vipers esobola okusukka ekibinja singa ebyo binaakolebwa.
kateregaya@yahoo.com 0782077016 / 0703286309

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});