Kampala Queens yeetaaga wiini emu ewangule ekya liigi y'abakazi

Feb 13, 2023

Lutalo agambye nti beesasulizza ku She Corporate FC eyabalemesa ekikopo sizoni ewedde ku njawulo ya ggoolo emu kyokka tekirina kuyinula bazannyi be nti liigi bagimaze. 

NewVision Reporter
@NewVision

FUFA women Super League 

Kampala Queens 2-0 She Corporate 

HAMZA Lutalo omutendesi wa Kampala Queens alabudde abazannyi be obutacamuukirira oluvannyuma lw’okumegga She Corporate ggoolo 2-0 e Kabojja mu liigi ya babinywera eya FUFA Women Super League. 

Lutalo agambye nti beesasulizza ku She Corporate FC eyabalemesa ekikopo sizoni ewedde ku njawulo ya ggoolo emu kyokka tekirina kuyinula bazannyi be nti liigi bagimaze. 

Ensiike eno yanyumidde abawagizi abeeyiye e Kabojja wabula aba She Corporate bazzeeyo e Nakawa nga batolotooma olwa Kampala Queens okubasinza ensumika ate nga sizoni ewedde baagikubya ssubi. 

Kampala Queens yeenywerezza ku ntikko ya liigi eno ku bubonero 33 nga Uganda Martyrs eyookubiri eri ku bubonero 19. KQ yeetaaga buwanguzi bwokka mupiira oguddako okulangirirwa nga bakyampiyoni b’omwaka guno. 

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});