Kampala Queens ebulayo wiini emu etwale ekya liigi y'abakazi
Mar 02, 2023
Ku Ssande, Kampala Queens ekyaza She Mak e Kabojja mupiira gwe beetaaga okuwangula balangirirwe ku bwakyampiyoni ba sizoni eno oluvannyma lwa ttiimu ezibagoba okuba nga bazisinga obubonero 14.

NewVision Reporter
@NewVision
Kampala Queens 7-0 Byafaayo Queens
BAWALA ba Hamza Lutalo aba Kampala Queens, baayongedde okutabuka bwe baawuttudde ttiimu ya Byafaayo Queens ggoolo 7-0 mupiira gw’okwegezaamu ku kisaawe kya Masharik nga beetegekera ensiike ya She Mak mu liigi ya babinywera ku wiikendi.
Ku Ssande, Kampala Queens ekyaza She Mak e Kabojja mupiira gwe beetaaga okuwangula balangirirwe ku bwakyampiyoni ba sizoni eno oluvannyma lwa ttiimu ezibagoba okuba nga bazisinga obubonero 14.
Omuzannyi wa Byafaayo Queens (ku ddyo) ng'attunka n'owa Kampala Queens.
Ggoolo za Kampala Queens zaateebeddwa, Jamirah Nabulime 52, Hasifah Nassuna 57, Grace Aluka 65, 72, Lilian Mutuuzo 79, Sophia Nakiyingi 82, ne Elizabeth Nakigozi 89, mu kitundu ekyokubiri oluvannyuma lw’omupiira okulemagana (0-0) mu kitundu ekisooka.
Lutalo agamb nti obuwanguzi buno bwawadde abazannyi be okwekkiririzaamu mu mupiira gwe balina okuttunkirako ne She Mak oluvannyuma lw’okuva mu mpaka za Women’s Cup eziyindidde wiiki bbiri.
Kampala Queens y’ekulembedde liigi n’obubonero 33 mipiira 11 nga tebannakubwamu mupiira gwonna sizoni eno.
No Comment