Aboolugave n'Abendiga balwana kuwangula ngabo mu gy'Ebika

Mar 02, 2023

Ku fayinolo y’omulundi guno yaakuzannyibwa wakati wa bazzukulu ba Lwomwa (abeddira Endiga) abaggyamu Effumbe ku mugatte gwa ggoolo 5-3 ne bazzukulu ba Ndugwa (abeddira Olugave) abaakuba Ekkobe (4-2) mu kisaawe e Wankulukuku nga March 11.

NewVision Reporter
@NewVision

ABADDUKANYA akakiiko akategeka emipiira gy’Ebika by’Abaganda basabye abakulu b’Ebika okukunga bazzukulu baabwe okugenda e Wankulukuku okuwangira fayinolo y’emipiira gy’Ebika.

Ku fayinolo y’omulundi guno yaakuzannyibwa wakati wa bazzukulu ba Lwomwa (abeddira Endiga) abaggyamu Effumbe ku mugatte gwa ggoolo 5-3 ne bazzukulu ba Ndugwa (abeddira Olugave) abaakuba Ekkobe (4-2) mu kisaawe e Wankulukuku nga March 11.

Mu lukung’aana lwa bannamawulire olwabadde e Bulange e Mmengo, ssentebe w’akakiiko akategeka emipiira gy’Ebika Hajji Sulaiman Magala yagambye nti, “Nneebaza Ebika ebyatuuka ku fayinolo olw’okubeera abugumiikiriza era nsaba abantu okweyiwa e Wankulukuku okuwagira Ebika byabwe.”

Hajji Magala.

Hajji Magala.

Nkubiririza abakulu b’Ebika ssaako abakulira amasomero okuleeta abayizi ku fayinolo era buli mwana anajjira mu yunifoomu, waakusasula 5,000/- ate abalala ba 10,000/- n’abakungu 20,000/-. Ekika ekinaawangula kyakusitukira mu 9,000,000/- owookubiri 7,000,000/-, anaakwata ekyokusatu wakati w’Ekkobe n’Effumbe waakuweebwa 5,000,000/- ate owookuna 3,000,000/-.

Mu kubaka, Engeye egenda kuba ettunka ne Mmamba Gabunga ku fayinolo ate Olugave n’Ennyonyi Ennyange balwanire ekyokusatu. Kyampiyoni mu kubaka ajja kuvaayo ne 7,000,000/-, owookubiri 5,000,000/-, owookusatu 3,000,000/- ate owookuna 1,000,000/.

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});