Abendiga banjulidde omukulu w'Ekika engabo ne bawaga

Mar 20, 2023

‘Nneebaza bazzukulu bange obutatuswaza ne bawangula Engabo y’emipiira kuba nga ab’Ekika kino, ffe twaleeta ekirowoozo ky’Ebika okusamba omupiira naye nga tubadde tetuwangula nga ku kirabo kino.’

NewVision Reporter
@NewVision

OMUKULU w’Ekika ky’Endiga Lwomwa Ying. Daniel Bbosa Kakeedo yeebazizza bazzukulu be olw’okuwangula Engabo y’emipiira gy’Ebika era n’abasaba balwane okugyesigaliza omwaka guno.

Ttiimu y’Ekika ky’Endiga yawangudde Engabo y’emipiira gy’Ebika by’Abaganda ez’omwaka 2022 bwe baakubye Olugave ggoolo (1-0) mu mupiira ogwabadde mu kisaawe kya Muteesa II Stadium e Wankulukuku.

Minisita Ssebuggwaawo ng'akwasa Sserunkuuma kapiteeni w'Endiga ebbaasa.

Minisita Ssebuggwaawo ng'akwasa Sserunkuuma kapiteeni w'Endiga ebbaasa.

‘Nneebaza bazzukulu bange obutatuswaza ne bawangula Engabo y’emipiira kuba nga ab’Ekika kino, ffe twaleeta ekirowoozo ky’Ebika okusamba omupiira naye nga tubadde tetuwangula nga ku kirabo kino.’ Lwomwa bwe yagambye nga ttiimu y’Endiga emutwalidde Engabo eno.

Yagasseeko nti, "Tugenda kufuba okulaba ng tugyesigaliza omwaka guno ng’era n’abalenzi we baakikoze omwaka 2022, n’eyabawala tugenda kulwana okulaba ng’esitukira mu Ngabo y’empaka z’okubaka omwaka guno."

Omukolo gwabadde ku buttaka bw’Ekika ky’Endiga e Mbale, Mawokota mu Mpigi nga gwetabiddwaako abakungu nga Sarah Nkonge, minisita omubeezi ow’ebyamawulire, eby’empuliziganya ne tekinologiya Joyce Nabbosa Ssebuggwawo, Ssewava Sserubiri n’abakulu okuva mu masiga g’Ekika kino.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});