Kawempe Muslims erwanira kyakubiri mu liigi y'abakazi

Mar 07, 2023

Nyinagahirwa eyateebye ggoolo eyookubiri agamba nti bwe baba baakusigala nga batadde akazito ku Uganda Martyrs ekirimu kati, balina okusigala nga bawangula emipiira gyabwe olwa ffoomu ennungi gye baliko mu luzannya olwokubiri. 

NewVision Reporter
@NewVision

Omuwuwuttanyi wa Kawempe Muslim Ladies, Shakirah Nyinagahirwa akubirizza bazannyi banne okusigala ku mutindo gwe baliko basobole okuvuganya ekifo ekyokubiri oluvannyuma lw’okumegga Lady Doves 2-0 ku wiikendi. 

Nyinagahirwa eyateebye ggoolo eyookubiri agamba nti bwe baba baakusigala nga batadde akazito ku Uganda Martyrs ekirimu kati, balina okusigala nga bawangula emipiira gyabwe olwa ffoomu ennungi gye baliko mu luzannya olwokubiri. 

Likodi ya Kawempe awaka sizoni eno nnungi kuba tebannakubwamu mupiira gwonna okuggyako She Corporate eyaggyawo amaliri ga (1-1) mu luzannya olwasooka. 

Kawempe Muslim, yamezze Lady Doves (2-0) ku wiikendi mupiira ogwanyumidde abawagizi saako n’abayizi abazze okuwagira ttiimu yaabwe. 

Obuwanguzi buno bwatadde Kawempe Muslim mu kifo ekyokusatu ku bubonero 17 nga Uganda Martyrs gye bagoba eri ku bubonero 22. 

Related Articles

No Comment

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});