Maroons enyize Asubo Gaffords ebitoliro
May 22, 2023
She Maroons yazze mu nsiike eno nga y’ekulembedde liigi y’ekibinja ekyokubiri mwe basombedde Asubo eddiba eryasanyusizza ennyo abawagizi ne beebuuza (Asubo) ky’ekola mu liigi ya babinywera ate ng’omupiira gwa kibogwe.

NewVision Reporter
@NewVision
She Maroons 2-0 Asubo Gafford
BANNANTAMEGGWA ba liigi y’abakazi mu kibinja ekyokubiri ekya FUFA Women Elite League aba She Maroons baayongedde okulaga nti tebagenda kusaagirwako bwe bakkakkanye ku Asubo-Gafford Ladies ezannyira mu liigi ya ya babinywera eya FUFA Women Super League ne bagikomerera ggoolo 2-0 mu kikopo kya FUFA Women’s League.
She Maroons yazze mu nsiike eno nga y’ekulembedde liigi y’ekibinja ekyokubiri mwe basombedde Asubo eddiba eryasanyusizza ennyo abawagizi ne beebuuza (Asubo) ky’ekola mu liigi ya babinywera ate ng’omupiira gwa kibogwe.
Anita Babirye ne Millicent Mwanzi Namwembe be bateebedde She Maroons ezaabawadde obuwanguzi mu luzannya olusooka mu maka gaabwe e Luzira.
Oluzannya olwokubiri lwakuzannyibwa wiikendi ejja ku kisaawe kya Kampala Quality amaka ga Asubo-Gafford nga bannyinimu beetaaga buwanguzi bwa ggoolo 3-0 okwesogga fayinolo ezijja okubeera e Kumi omwezi ogujja.
No Comment