Owa Uganda Martyrs alabudde abazannyi obutabalaatira mu fayinolo y'abakazi eya Uganda Cup
May 31, 2023
OMUTENDESI wa Uganda Martyrs Edward Ssozi akalaatidde abazannyi be obutacamuukirira oluvannyuma lw’okuwandula Kawempe Muslim mu kikopo kya Uganda Cup w’omupiira gw’abakazi (FUFA Women’s Cup) ku luzannya lwa semi.

NewVision Reporter
@NewVision
Asubo Gafford FC 2-1 She Maroons (2-3)
Kawempe Muslim 0-0 Uganda Martys (0-1)
OMUTENDESI wa Uganda Martyrs Edward Ssozi akalaatidde abazannyi be obutacamuukirira oluvannyuma lw’okuwandula Kawempe Muslim mu kikopo kya Uganda Cup w’omupiira gw’abakazi (FUFA Women’s Cup) ku luzannya lwa semi.
Ssozi agamba nti ekikopo tebannakiwangula wadde nga bagenda kuttunka ne She Maroons eyawanduddemu Asubo Gafford ezannyira mu liigi ya babinywera eya FUFA Women Super League ku mugatte gwa ggoolo 3-2.
She Maroons be bannantameggwa ba liigi ey’okubiri eya FUFA Elite League nga baakuttunka ne Uganda Martyrs eyamalidde mu kifo eky’okusatu mu liigi.
“Tetugenda kunyooma She Maroons kuba yasobodde okuwandula Asubo Gafford eyamaanyi mu liigi kati olwo ffe tugenda kukola ekisoboka kyonna okulaba nga tusitukira mu mpaka zino naffe tubeeko n’ekikopo mu kabada yaffe,” Ssozi bwe yategeezezza.
Fayinolo yaakubeera e Kumi ng’omuwanguzi waakusitukira mu kikopo saako n’obukadde 15.
No Comment