She Corporates ne Kampala Queens bali mu lutalo lw'ani atwala liigi
May 17, 2022
OBUNKENKE bweyongedde wakati wa ttiimu ebbiri; Kampala Queens ne She Corporate mu liigi y’abakazi eya FUFA Women Super League nga buli emu ezannya etunuulidde ginnaayo okulaba ani awangula ekikopo kya liigi sizoni eno.

NewVision Reporter
@NewVision
FC Tooro Queens-She Corporate
Kampala Queens-Olila H/S WFC
Uganda Martyrs-She Maroons FC
Rines SS WFC-UCU Lady Cardinals
Kawempe Muslim-Lady Doves FC
She Corporate ekulembedde n’enjawulo ya ggoolo emu yenkanya ne Kampala Queens obubonero (35), kyokka leero era buli emu esabirira ginnaayo esuule.
Leero, olutalo lw’ekikopo baalwongeddeyo nga She Corporate ekyadde Buhinga gy’egenda okuttunka ne bannyinimu aba FC Tooro Queens, omupiira oguliko obugombe sso nga yo Kampala Queens ekyaza Olila H/S WFC e Kabojja.
Omutendesi wa She Corporate, Hassan Isa yagambye nti tasuubira bawala be kumuyiwayo mu kaseera kano.
Ttiimu zino zaakwambalagana mu mupiira oguggalawo sizoni, ku Lwokutaano (May 20), buli omu gw’atunulidde nga fayinolo yennyini enaayawula abawala ku bakazi era gulindiddwa nga mbaga.
No Comment