Kiraabu ya taekwondo eya Police esitukudde mu kikopo kya Korean Ambassadors Cup eky’omwaka guno bw’ewangudde mu bakazi n’abasajja oluvannyuma lw’ensiitaano emaze ennaku bbiri mu kisaawe ekibikke eky’e Lugogo Indoor Arena.
Empaka zino ezeetabiddwaamu abazannyi 327 nga mulimu n’abaavudde e Kenya abeegattidde mu kiraabu ya Regional Taekwondo Team.
Eno yawangudde CSCA eyawangula empaka zino lwe zaasemba okuzannyibwa mu Uganda. Empaka zino zaategekeddwa ekibiina ekiddukanya omuzannyo guno ekya Uganda Taekwondo Federation (UTF) nga kyegattiddwaako ab’ekitebe kya Korea mu Uganda.
Aba Police abaawangudde ekikopo kino.
Baavuganyizza mu mutendera ogw’abakulu n’abato abakazi n’abasajja nga zeetabiddwaamu kiraabu 20. Omuwandiisi w’ekitebe kya Korea owookubiri mu Uganda, Yi Seung Hee ye yakwasizza abawanguzi ebirabo n’agamba nti bagenda kwongera enkolagana yaabwe ne Uganda mu muzannyo guno.
“Tugenda kuleeta omutendesi b’omuzannyo guno mu Uganda batandike okubangula abazannyi,” Yi Seung Hee bw’ategeezezza.
Ye omumyuka wa pulezidenti wa UTF, Ismail Bbumba yategeezezza nti empaka zino ziyambye okulaba ng’omutindo gw’abazannyi nga gulinnya wabula n’abalabula obutava mu kutendekebwa kuba empaka za National Open Taekwondo Tournament zinaatera okutandika.