Eza Korean Ambassador's Cup zibawuuba

Omutendesi wa ttiimu y’eggwanga owa taekwondo, Mark Ogwang yategeezezza nti empaka zigenda kubeera za mugaso kuba zaakumalako abazannyi ennyonta. Zaasemba okuzannyibwa mu 2018 ne zizikira olw’ekirwadde kya Corona.

Oswald Ochiro owa Police (ku kkono) ng'attunka ne Paul Odong gye buvuddeko.
By Silvano Kibuuka
Journalists @New Vision
#Lugogo Indoor Arena #Mark Ogwang #‘Kukkiwon Demonstration Team’ #Judith Aujo #Uganda Taekwondo Federation

Abanyumirwa omuzannyo gwa taekwondo beesunga mpaka za Korean Ambassadors Cup ezinaazannyibwa ku Lwomukaaga ne Ssande mu Lugogo Indoor Arena.

Empaka zino ezigenda okuzannyirwa ku musingi gwa kiraabu, zeeyongeddemu ebbugumu olwa kiraabu ttaano ezivudde e Kenya okwewandiisa nga zirimu ez’abato n’abakulu abakazi n’abasajja.

Omutendesi wa ttiimu y’eggwanga owa taekwondo, Mark Ogwang yategeezezza nti empaka zigenda kubeera za mugaso kuba zaakumalako abazannyi ennyonta. Zaasemba okuzannyibwa mu 2018 ne zizikira olw’ekirwadde kya Corona.

“Nga bwe tutalina liigi, empaka zino mwe tujja abazannyi abalungi be tulondoola okubateeka mu ttiimu y’eggwanga,” Ogwang bw’ategeezezza.

Kiraabu za Uganda 29 ze zeewandiisizza okuvuganya mu mpaka zino ezigenda okumala ennaku bbiri. Ab’ekitebe kya Korea mu Uganda empaka baazongeddemu ebinnonnoggo bwe baaleese ekibiina kya ‘Kukkiwon Demonstration Team’ omuli abazannyi abagenda okwolesa obukodyo obukozesebwa mu muzannyo guno naddala okusobozesa omuntu okwetaasa ng’alumbiddwa abazigu.

Empaka zino zaasemba okuwangulwa ttiimu engatte eyava e Rwanda wabula ku luno abazannyi b’eggwanga eryo tebazze okusinziira ku ssaabawandiisi wa Uganda Taekwondo Federation, Judith Aujo.

Aujo yagambye nti batandise okusengeka ennwaana z’abazannyi era nga bagenda kupimibwa Lwakutaano e Lugogo.