Bayern eyingiridde Arsenal ne Chelsea ku Rice
May 30, 2023
Gye buvuddeko, kibadde kigambibwa nti Rice ayinza okwegatta ku Arsenal oba Chelsea era nga kiraabu zombi omwezi oguwedde zaalaga nti zimwetaaga wabula ziyinza okumufiirwa oluvannyuma lwa Bayern okuyingirawo.

NewVision Reporter
@NewVision
BAKYAMPIYONI ba Bundesliga aba Bayern Munich batandise okugoba ku by’okukansa ssita wa West Ham, Declan Rice nga baagala abeegatteko.
Rice, ayogerwako ng’omu ku bazannyi abgenda okwabulira West Ham mu katale kano. Y’omu ku bawuwuttanyi aboogerwako mu Bulaaya ensangi zino era ng’ayagala kwe gatta ku ttiimu ndala mw’asobola okuwangulira ebikopo. Mu West Ham alina fayinolo ya Europa Conference wiiki ejja gy’ayagala okuwangula abasiibule n’ekikopo.
Gye buvuddeko, kibadde kigambibwa nti ayinza okwegatta ku Arsenal oba Chelsea era nga kiraabu zombi omwezi oguwedde zaalaga nti zimwetaaga wabula ziyinza okumufiirwa oluvannyuma lwa Bayern okuyingirawo.
Okusinziira ku mawulire agava mu Girimaani, aba Bayern beetegefu okusaasanya obukadde bwa pawundi 95 okufuna Rice.
No Comment