Eya handball egenda Tunisia mu za Afrika
May 31, 2023
Mu mawanga gonna agagenda okwetaba mu mpaka zino, ttiimu 4 ezinaasinga okukola obulungi zaakuyitawo butereevu okwesogga ez’ensi yonna ‘ANOC World Beach Games’ ezinaazannyibwa mu kibuga Bali ekya Indonesia wakati wa August 5-12, 2023.

NewVision Reporter
@NewVision
EKIBIINA ekifuga omuzannyo gwa handball mu ggwanga ekya Uganda Handball Federation (UHF), kirangiridde ttiimu y’eggwanga ey’abakazi esookedde ddala mu byafaayo okukiika mu mpaka za handball w’oku musenyu (Second African Beach Games).
Uganda okulondebwa ku mawanga agagenda okukiika mu mpaka zino kiddiridde empaka eziri ku mutendera gwa Africa n’ensi yonna ttiimu z’eggwanga endala ezitali za bbiici mwe zizze zeetaba ate ne liigi y’awaka ezannyibwa buli sizoni.
Empaka zino zaakuzannyibwa wakati wa June 23-30 mu kibuga Hammamet ekya Tunisia nga Uganda yaakubbinkana ne Kanya, Mali, Algeria ne Tunisia abategesi.
Mu mawanga gonna agagenda okwetaba mu mpaka zino, ttiimu 4 ezinaasinga okukola obulungi zaakuyitawo butereevu okwesogga ez’ensi yonna ‘ANOC World Beach Games’ ezinaazannyibwa mu kibuga Bali ekya Indonesia wakati wa August 5-12, 2023.
Agonzibwe (ku kkono) Willy Mayanja (wakati) n'omutendesi Ismail Bazannye.
Abazannyi ba ttiimu y’eggwanga 20 be baasunsuddwa nga baatandise okutendekebwa ku kisaawe kya yunivasite y’e Ndejje mu Luweero wansi w’abatendesi Goerge Isabirye n’omumyuka we Ismail Bazannye wabula 10 bokka be balina okugenda e Tunisia.
Sheila Agonzibwe, pulezidenti w’ekibiina kya handball mu ggwanga yategeezezza nga ttiimu bw’esuubirwa okuyingira enkambi y’okusula e Ndejje gye batendekerwa okutandika ne June 11-21. “Twetaaga obukadde obutakka wansi wa 42 mu nteekateeka zino, ssinga era twetaaga abatudduukira,” Agonzibwe bwe yategeezezza.
ABAZANNYI ABAAYITIDDWA;
Florence Winnie Anyait, Racheal Nyakaisiki, Lilian Achola ne Shakira Bako (ba Ndejje University), Oliver Katusiime, Hilda Abangit, Aisha Namajja, Mutesi Nasiimu ne Lilian Nampijja (ba Victoria University), Kurusum Abiria, Scovia Lamunu ne Brenda Adokochi (ba Prisons), Proscovia Nakiyingi, Annet Ayochani ne Diana Tiperu (ba UPDF), Doreen Adoa (Police), Esther Adyeru (Mbogo High), Pretty Tusiime (Makerere), Everyline Aitasi (Kawanda) ne Fauzia Nakajja (Nkajja).
No Comment