Ssekajugo azzeemu 'okuzaala' Engabi Ensamba

Jul 11, 2023

Omupiira Engabi gwe yasembyeyo okuzannya e Wakisha, baalemaganye n'Eng’onge ggoolo 2-2 era Ssekajugo ye yabasaze ku kaguwa kuba Engabi yaguvudde mabega ggoolo bbiri.

NewVision Reporter
@NewVision

Leero mu mipiira gy’Ebika e Wankulukuku;

Engo – Nseenene, 8:00

Ng’onge – Ffumbe, 10:00

Eggulo;

Ngabi Nsamba 1-1 Musu

Vienney Ssekajugo, kapiteeni wa bazzukulu ba Nsamba (Abengabi) ye yabadde omuzira waabwe omulundi ogwokubiri ogw'omuddiring’anwa bwe yagifunidde akabonero ng'eremagana n'Omusu ggoolo 1-1.

Omupiira Engabi gwe yasembyeyo okuzannya e Wakisha, baalemaganye n'Eng’onge ggoolo 2-2 era Ssekajugo ye yabasaze ku kaguwa kuba Engabi yaguvudde mabega ggoolo bbiri.

Mu gwe bazzeeko nga basisinkanye bazzukulu ba Muyingo (Aboomusu) ku kisaawe kye kimu (Wakisha), era Ssekajugo azannyira URA FC mu liigi ya StarTimes Uganda Premier League ye yateebye ggoolo yokka ne guggwa (1-1). Ggoolo y'Omusu yateebeddwa Jibril Nsimbe.

Kati Ssekajugo awezezza ggoolo nnya mu mpaka zino, nga Sula Maluda Matovu bwe bazannyira mu kika ekimu alina ttaano. Abubaker Mayanja (Omutima Omuyanja) y'akyakulembedde abateebi ne ggoolo mukaaga.

Emipiira ebiri okuli ogw’Engo n’Enseenene, Eng’onge n’Effumbe egyayongezeddwaayo olw’ekisaawe ky’e Wankulukuku mwe gyabadde girina okuzannyibwa okubeera mu mbeera embi, gizannyibwa leero ku Lwokubiri mu kisaawe kye kimu.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});