Bapulo beegasse ku Crested Cranes enkambi n'ebuguma

Sep 19, 2023

Omuteebi Fauzia Najjemba azannyira mu FC Dynamo Mosco Women FC eya Russia, omuwuwuttanyi Joan Nabirye (FC Minsk eya Belarus), ggoolokipa Vanessa Edith Karungi ne Phiona Nabbumba (aba Boldklubben af 1893 eya Denmark) be beegasse ku Crested Cranes.

NewVision Reporter
@NewVision

2024 Women’s Africa Cup of Nation

Uganda - Algeria, Njeru

ENKAMBI ya Crested Cranes ttiimu y’eggwanga ey’omupiira gw’abakazi yeeyongedde ebbugumu bapulo bana bwe bagyegasseeko mu kwetegekera okukyaza Algeria mu z’okusunsulamu amawanga 12 agalyetaba mu za Afrika omwaka ogujja.

Omuteebi Fauzia Najjemba azannyira mu FC Dynamo Mosco Women FC eya Russia, omuwuwuttanyi Joan Nabirye (FC Minsk eya Belarus), ggoolokipa Vanessa Edith Karungi ne Phiona Nabbumba (aba Boldklubben af 1893 eya Denmark) be beegasse ku Crested Cranes.

Bano bawezezza omugatte gwa bapulo musanvu abali mu nkambi ya Crested Cranes okuli; Joan Ainembabazi, Riticia Nabbosa ne ggoolokippa Ruth Aturo abazannyira mu Simba Queens FC eya Tanzania.

Vanessa Karungi, ggoolokipa wa ttiimu.

Vanessa Karungi, ggoolokipa wa ttiimu.

Eno wiiki yaakusatu nga Crested Cranes eri mu nkambi ku kisaawe kya FUFA Technical Center e Njeru. Enkya (Lwakusatu) bazannya Algeria abaatuuse mu ggwanga eggulo (Mmande).

Eno y’ensiike esooka eya ttiimu zombi mu z’okusunsulamu zino, baakudding’ana September 26, 2023 mu kibuga Oran ekya Algeria. Ayitawo waakuttunka ne ttiimu eneewangula wakati wa Burundi ne Ethiopia ku mutendera ogusembayo.

Ttiimu eneeyitawo mu mitendera gyonna yaakwegatta ku Morocco abategesi ne ttiimu endala 10 okuweza omugatte gwa 12 ezigenda okuvuganya mu za 2024 TotalEnergies Women’s Africa Cup of Nations mu kibuga Sale ekya Morocco.

Crested Cranes eri wansi Ayub Khalifa Kiyingi omumyuka w’omutendesi atannalangirirwa FUFA.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});