She Cranes efukamizza Wales mu z'omukwano e Cardiff

Jan 14, 2024

 Mary Nuba ne Lilian Achola basukkulumye ku bannaabwe.

NewVision Reporter
@NewVision

OMUTEEBI wa She Cranes, ttiimu y’eggwanga ey’okubaka Mary Nuba Cholhok azannya pulo mu Loughborough Lightning eya Bungereza alondeddwa ng’omuzannyi asinze okwolesa omutindo omulungi mu nsiike z’omukwano Uganda z’ebaddemu mu kibuga Cardiff ekya Wales.

Nuba Nga Munnamawulire Aliko By'amubuuza.

Nuba Nga Munnamawulire Aliko By'amubuuza.

Eggulo She Cranes lwe yakomekkerezza obugenyi bw’ennaku ettaano bwe yabaddeko mu Cardiff gye yazannye ensiike ssatu ez’omukwano muWales International Netball Series.

Ku nsiike essatu, eggulo yafunye wiini eyookubiri ey’omuddiring’anwa bwe yamezze Welsh Feathers ggoolo 59 ku 48.

Ku Lwokutaano nga January 12 yabakubye ggoolo 64 ku 40 n’ebeesasuza oluvannyuma lwa Wales okuwangula ensiike eyaggulawo obugenyi buno ku Lwokusatu n’obugoba 57 ku 45.

Nuba mu nsiike zonna essatu yayolesezza obukugu ku kisaawe ng’adduumira She Cranes bulungi, okuteeba ggoolo ye yasinze ate ng’alina empisa n’obukkakkamu.

Lilian Achola Eyasukkulumye Ku Banne.

Lilian Achola Eyasukkulumye Ku Banne.

Ku Lwokutaano Munnayuganda omulala omuzannyi wa She Cranes ne Makindye Weeyonje Netball Club mu liigi y’eggwanga eya babinywera, Lilian Achola ye yabadde omuzannyi w’olunaku, ekifudde Uganda ey’enkizo mu nsiike zonna essatu omwaka guno.

Enkya ku Mmande, She Cranes lw’esitula okuva mu Cardiff eyolekere Wembley ne Leeds mu Bungereza gy’egenda okwetaba mu mpaka za Vitality Netball Nations Cup ezitandika ku Lwomukaaga lwa wiiki eno nga January 20, 2024 zikomekkerezebwe nga January 28.

Uganda yagenze nga ttiimu eng’enyi mu mpaka zino ezeetabwamu amawanga 3 agakulembedde mu nsengeka z’omuzannyo guno mu nsi yonna okuli; Australia, New Zealand ne Bungereza abategesi.

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});