Aba Arsenal batya Salah okubakuba awaluma
Jan 16, 2024
Misiri yasiitaanye okukola amaliri ne Mozambique (2-2) kyokka ekisinga okutiisa abawagizi ba Arsenal kya kuba nti singa Misiri teva mu bibinja, ssita waayo Mohamed Salah yandikomawo n’abatigomya.

NewVision Reporter
@NewVision
Abawagizi ba Arsenal bali mu kutya olw’omutindo gwa Misiri mu mpaka za Afrika eziyindira mu Ivory Coast mu kiseera kino.
Misiri yasiitaanye okukola amaliri ne Mozambique (2-2) kyokka ekisinga okutiisa abawagizi ba Arsenal kya kuba nti singa Misiri teva mu bibinja, ssita waayo Mohamed Salah yandikomawo n’abatigomya.
Batabani ba Mikel Arteta baakukyaza Liverpool omulundi ogwokubiri sizoni eno nga February 4 mu nsiike ya Premier esuubirwa okubaako n’obugombe. Arsenal esabirira waakiri Misiri yeesogge ‘quarter’ z’empaka zino Salah asigale ku ttiimu ye okutuusa nga nga bamaze (Arsenal) okuzannya Liverpool.
Ssita wa Arsenal, Mohamed Elneny naye ali ku ttiimu y’eggwanga eya Misiri eyakubirwa ku fayinolo mu mpaka ezaasembayo.
Liverpool yalumbye Arsenal ku Emirates mu FA Cup n’egikubirayo ggoolo 2-0 gye buvuddeko wadde nga Salah teyagubaddemu.
No Comment