Mourinho agobeddwa lwa kukonya Roma
Jan 16, 2024
Omuportugal ono eyatendekako ManU, Chelsea ne Real Madrid agambibwa okwekola obusolosolo ng’ali ku kisaawe ne bamugoba ku kisaawe ekiviiriddeko ttiimu eno okuvumbeera.

NewVision Reporter
@NewVision
Jose Mourinho akwatiddwa ku nkoona ku butendesi bwa Roma eya Yitale. Kiddiridde bakama be okumulumiriza okukonya ttiimu nga bagamba nti enneeyisa ye eviiriddeko ttiimu okuvuya.
Omuportugal ono eyatendekako ManU, Chelsea ne Real Madrid agambibwa okwekola obusolosolo ng’ali ku kisaawe ne bamugoba ku kisaawe ekiviiriddeko ttiimu eno okuvumbeera.
Mu kiseera kino Roma yaamwenda ku bubonero 29 nga yasembye kukubwa AC Milan ggoolo 3-1. Mourinho omulimu guno agumazeeko emyaka ebiri n’ekitundu era mu 2022, yabawangulidde ekikopo kya Europa Conference League.
Endagaano ya Mourinho ebadde eggwaako ku nkomerero ya sizoni eno kyokka eng’ambo zibadde zaatandika okusaasaana nga bw’agenda okwabulira ttiimu eno.
Ku Lwomukaaga, Roma ekyaza Verona mu nsiike ng’erwana okuwangula mu lutalo lw’eriko okusobola okudda engulu.
No Comment