AC Roma egobye Jose Mourinho ku gw'obutendesi
Jan 16, 2024
KIRAABU y’e Yitale eya AC Roma egobye Mourinho abadde omutendesi waayo era eyatendeka ku Manchester United, Chelsea ne Real Madrid.

NewVision Reporter
@NewVision
KIRAABU y’e Yitale eya AC Roma egobye Mourinho abadde omutendesi waayo era eyatendeka ku Manchester United, Chelsea ne Real Madrid.
Omuportugal ono we bamugobedde nga Roma gy’abadde atendeka eri mu kifo kyamwenda mu liigi yaayo aya Serie A.
Mourinho 60, yaweebwa omulimu guno mu May 2021 era n’abakulembera okuwangula ekikopo kya Europa Conference League mu 2022 ssaako okubatuusa ku fayinolo ya Europa League mu 2023.
We bamugobedde nga Roma eri obubonero butaano wansi w’ebifo ebigenda mu Champions League nga ne mu wiiki ewedde baawanduse mu kikopo ekirala ekya Coppa Italia.
Mu kiwandiiko ekimufuumudde enkya ya leero, ababadde bakama be , bannannyini AC Roma,Dan ne Ryan Friedkin beebazizza Mourinho olw’okuweereza obulungi nga teyeebalira n’okwagala ennyo Roma, newankubadde sizoni eno ebintu bibadde bimutabuseeko olw’ensonga ez’enjawulo.
Mu mupiira gwe yasembye okutendeka Roma ku Ssande ewedde, AC Milan yabakubye ggoolo 3-1, musajja wattu n’adda eka ng’atakula omutwe.
No Comment