Chelsea ebuukidde musaayimuto wa Blackburn

Jan 28, 2024

Baatutte mu Blackburn obukadde bwa pawundi 18.5 kyokka ne babubagobya nga bannannyini muzannyi baagala 25.

NewVision Reporter
@NewVision

Chelsea ebuukidde musaayimuto wa Blackburn, Adam Wharton, 19. Omuzannyi ono y’omu ku batunda nga keeki mu katale k’abazannyi kano nga ne Crystal Palace yabadde emutunuulidde.

Baatutte mu Blackburn obukadde bwa pawundi 18.5 kyokka ne babubagobya nga bannannyini muzannyi baagala 25. Chelsea eri mu kaweefube wa kwezza buggya eddemu evuganye ku bikopo kyokka ku mulundi guno ng’egula bazannyi bato b’esobola okuzimba.

Mu ngeri y’emu Crystal Palace eyagala kwongera kuggumiza ttiimu yaabwe esobole okuvuganya mu mpaka za Bulaaya. Omutendesi wa Crystal Palace, Roy Hodgson ali ku puleesa olwa ttiimu okuvumbeera. Bali mu kya 15 ku bubonero 21.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});